15th February,2022
Our Ref:NAMID/BP02/22
Abakristayo mwena,
St.Paul’s Cathedral,Namirembe COU.
OKWEBAZA
Mbalamusizza mu Kristo Yesu Mukama waffe
Mpandiise okusooka okwebaza Katonda era awamu namwe olw’omukisa gwetulina Okuwerereza awamu mu Bulabirizi buno obwe Namirembe. Okuva lwenalondodebwa,okwawulibwa n’okutuuzibwa ng’Omulabirizi mu Bulabirizi buno,mutulaze okwagala,okuteesa era n’okukwanaganya okukolera awamu emirimu egy’obuwereeza muKkanisa ya Kristo.
Tunajjukiranga bwemutwanirizzanga obulungi ennyo nga tuzze okuweerereza mu bitundu gyemuli mu Maka getusobodde okutuukamu,Ekkanisa yonna gyemuba mutegekedde era n’Amassomero. Mwewaddeyo era nemuwaayo ebiseera okuteeseza eKkanisa mu nkiiko eziviira ddala ku Kkanisa essookerwako okutuuka ku Bulabirizi era muwaddeyo ensimbi olw’obuweereza bwe Kkanisa buli kiseera lwemutuukiridwa.
Mbebaza nnyo olwemirimu gino gyetwakola nga twakaawulibwa n’okutuuzibwa:Okuddaniriza Lutikko,Okuwagira omulimu gwa Sanyu Babies Home,Okuddabiriza ebimu ku bizimbe bya Buloba Teacher’s College awamu ne Namugongo Martyrs Seminary.
Katonda nga ayongera okutulaga nti ffena tulina ebirabo ebyokugasa nga tuzimba omubiri gwa Kristo,ndabye Katonda bwabakozesa nebirabo byabawadde nga Abakristaayo(Laity),Ababuulizi(Lay Readers),Abasumba(clergy),nemutukulembera mu mirimu egitali gimu. Ekkanisa empya nezizimbibwa,nendala neziddabirizibwa. Amayumba gabaweereza negazimbibwa namalala negaddabirizibwa. Ebidduka nebigulibwa era nemutukubiriza okutandila projects ezitali zimu. (Kino kinsanyusiiza okulaba nga Ebirabo bya bantu bikozeseddwa bulungi era nekitaba nti Omulabirizi yakola buli kimu nga abaalala bamwegese Amaaso. Kale Ffena netugambira wamu nti Mukama atubedde 1 Sam 7:12.
Nebaza Abakulu ba masomero nenkiiko ezitukulembera mu masomero ago olwempereza yagamu okutumbiila mu ndabika yebizimbe ate n’okusoma kwa bayizi nekulinya omutindo. Waliwo agakyalina olugendo oluwaanvu okuva wegali okweyongerayo  naye tuleme kugwamu manyi (Tukole).
Twajira mu kiseera ekyali kiteesabbwako okwongera amaanyi mu mulimu ogw’okubulira enjiri (Decade of mission 2008-2018). N’ebaza ol’womulimu ogukolebwa mu bato,abavubuka n’abakadde,mumassomero amalwaliro,amakomera era nemu basuubuzi mu kibuga mu Kampala. Nebaza olw’ebituukiddwako mu kitongole Kya Mission nga balungamizibwa Board of mission nga bali wansi w’Omulamwa
“Okumanya Kristo n’Obuyinza Obwokuzuukira kwe” Abafiripi 3:10. Era tunajjukiranga omilimu gwetukolera awamu nga banaffe abo batukubiriza ogw’okuzimba MISSION HOUSE. Kale bannange nga tuli mulugendo  olw’okufuluma nga 8th December 2023,nga tugoberera Semateeka wa Kkanisa ya Uganda alambika okuwumulira mu Mu myaka 65 egy’obukulu n’olekera abalala,mbakubiriza ku bino:
-Mukole nnyo okusobola okweyimirizaayo
-Mukole nnyo okusobola okuyimirizaayo obuwereeza bwe Kkanisa.
-Mufube nyo okukozesa ettaka Katonda lyeyatuwa era erikyaliwo okukolerako no emirimu egisitula e Kkanisa n’Okubuulira enjiri.
-Muwagire kawefube w’okulima emwanyi e Sempya mu Namayumba Parish,Luwami nekukitebi ky’obusumba e Masuulita era mujukire nti tulina Namugongo farm ate Kyankwanzi Diocesan Ranch.(Temwerabira Abalwana ba maanyi batutayiza bubi naddala abalwana batwale eby’obugagga bwe Kkanisa,mulwane naamanyi tuliwangula).
Era ekyenkomerero temwerabira okusabira e Kkanisa ebeere n’okulungamizibwa bulungi buli kiseera ku ngeri entuufu ey’okutambula olugendo olw’okuva bukulembeze  obwomuwereeza omu okudda mu buweereza bw’omuwereza omulala.
Kitukakatako okulaba nga e Kkanisa eri bumu eya Kristo era nga byayagala byetukola. Omukisa gwetulina kwekugiwererezaamu. Bwomalako ekisera kyo gwe nogenda abasigadde nebeyongerayo. Era ffe mu kisera ekisigaddeyo eky’okuwerereza oyo gyemuli Okuwereza bwekuba kulima,tulima tukwanya.
Mirembe Aboluganda.
Rt.Rev.Wilberforce Kityo Luwalira.
OMULABIRIZI W’E NAMIREMBE

Leave a Reply

Your email address will not be published.